Bya Shamim Nateebwa

Mungeri yokutukirizza obuvunanyizibwa, bwokuddabirizza Twekobe ssentebbe wolukiiko Godfrey Kirumira kulwa banne, atandiise omulimu.
Kirumira ategeezezza nti bagenda kukola Twekobe ebeere nga g’emaka ag’ennono agasinga ekitiibwa ku lukalu lw’Omuddugavu.
Mungeri yokusosowazza ebikujjuko bya Jubilewo Kabaka yayungudde basajja be enkwatangabo okukulemberamu omulimu gw’kuyooyoota Twekobe okugituusa ku mulembe gw’ensi yonna bagimukwase nga July 24 mu 2018 terunayita okusobola okukoleramu emikolo gy’ebijaguzo by’emyaka 25 bukya atuuzibwa ku Nnamulondo.
Abalondeddwa kuliko Godfrey Kirumira namyukibwa John Bagambe, Munnamateeka Masembe Kanyerezi ye Muwanika ate Omukungu Robert Ssewava ye Muwandiisi neba memba abalala 50.
Mu kutongozza olukiiko luno olwatuumiddwa “TWEKOBE EJJUDDE”, Katikkiro Charles Peter Mayiga yategezezza nti Obuganda buli mu kusomoozebwa kubanga Olubiri lwa Buganda olutongole weeruli kyokka Kabaka tasobola kululamuliramu wadde Nnabagereka okugerekeramu Obuganda n’asaba olukiiko olutereddwawo okulaba nga lutandikira ku kulaba nga Twekobe etekebwamu buli kalonda eyetagisa.