Bya Mbogo sadat
District y’e Mpigi esazeewo okutandika okukangavvula abazadde abasajja abeesuuliddeyo ogwa naggamba mu kuweerera abaana mu masomero.
Bino bisaliddwawo akakiiko ka district eno ak’ebyenjigiriza mu lukiiko olubadde olw’ebbugumu olutudde ku kitebe kya district mu town council eya Mpigi.
Ssalongo Ben Ssozi omukiise wa town council eya Mpigi atutegeezezza nti ebimu ku bisaliddwawo kwekuba nti taata yenna anaasuulanga obuvunanyizibwa wakutanzibwa ensimbi ezitali wansi wa mitwalo kumi.