Skip to content Skip to footer

Polisi ekubye omukka ogubalagala mu bavuganya gavumenti e Kasubi

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi ekubye amasasi mu bbanga nomukka ogubalagala mu lukungaana lwabavuganya gavumenti e Kasubi, nga nabamu balabiddwako nebisago.

Olukungaana luno lubadde ku masiro mu Rubaga North, ewomubaka Moses Kasibante.

Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti Winnie Kiiza, abadde akuilembeddemu abavuganya gavumenti okulabula abantu ku kabi akali mu nnongosererza zokujja ekkomo ku myaka gyomukulemeze we gwanga.

Olukungaana mu kusooka lubadde lwa mirembe wabula ekinawudde poliisi okuwandagaza amasasai mpaawo akitegedde.

Leave a comment

0.0/5