Amawulire
Malaaya yezoobye n’owa Bodaboda
Wabaddewo katemba wano ku luguudo lwa industrial area abagoba ba bodaboda bwebatabukidde omukazi agambibwa okubba essimu yamunaabwe oluvanyuma lw’okumutwala mu loogi besanyusemu.
Rashid Tumuhebwa y’atabukidde omukazi ono atategerekese manya ng’amulumiriza okubba essimu ye bweyabadde agenze okunaaba.
Omukazi abadde tasiba zikweya yerwanyeeko okukkakana nga engoye z’omusajja aziyuzizza nga agamba nti ono yamusuubizza okumusasula emitwalo 5 wabula oluvanyuma lw’okwesanyusamu nagaana okumusasula.
Omuvuzi wa bodaboda ono naye akalambidde nga abanja essimu era omukazi amuyisizzamu empi ezamangu.