Amawulire
Balumbye kooti
Ababaka basatu abagobwa mu kibiina kya NRM balumbye kooti etaputa ssemateeka
Kiddiridde okuwulira oluvuvuumo nti omusnago NRM gweyatwala mu kooti gubadde gwakuwulirwa nga tebamanyi.
Bano nga bawerekeddwaako ba looya baabwe okuli Prof George Kanyeihamba, Wandera Ogalo ne Nicholas Opio ,bagenze butereevu eri omuwandiisi wa kooti
Bamaze nebasisisnkana omwogezi w’ekitongole ekiramuzi Erias Kisawuzi awakanyizza ebibadde byogerwa
Kisawuzi agambye nti omulamuzi alina okukola omusnago guno Steven Kavuma taliiwo era ng’omusango n’olwenkyo tegusobola kuwulirwa
Omubaka Saleh Kamba yeeyaddukira mu kooti ng’ayagala kooti esazeemu ebyasalibwawo spiika bano bagyibwe mu palamenti.