Skip to content Skip to footer

Amataba,ko n’edwadde byandirumba uganda mu nkuba eno.

Bya Ssebuliba Samuel.

Banayuganda balabuddwa okwerinda amataba, ko n’okubumbuluka kw’etaka okuyinza okubalukawo naddala mu buvanjuba bwe gwanga, ebugwanjuba,ko nenjegoyego zolusozi Elgon nga kino kiva kunkuba ey’amaanyi etonya.

Kuno okulabula kukoleddwa office ya saabaminister , nga eyita mu kitongole ekyatekebwawo okwetegereza ebigwa tebiraze nga tebinatuuka.

Kati bano balabudde abakulu ba government bonna abali mubifo bino okwanguwa okulabula abantu okweseega nga bukyali okwewala emitawaana egiyinza okubagwira.

Emitawaana emirara egy’ogedwako nga egigenda okujjira munkuba eno kuliko amataba wano mu kampala, laddu, obulwadde bw’omusujja gw’ensiri nga  kolera   n’ebirara nadala wano okumpi ne Nyanja Nalubaale.

Leave a comment

0.0/5