Bya Ruth Anderah.
Waliwo Omwana ow’emyaka 15 avunaniddwa n’asindikibwa mu komera ly’abaana e Naguru ku bigambibwa nti yabbye computer.
Kigambibwa akalenzi kano computer kagibba nga March 10th-2018 wabula bwekasomeddwa omusango gw’obubbi mu maaso g’omulamuzi we daala erisosoka ku city hall Beartrice Kainza abyeganyi.
Wano omulamuzi wamusindikidde ku alimanda e Naguru okutuusa okutuusa March 26th omusango gutandike okuwulirwa.
Ate era omulenzi w’e myaka 16 asindikiddwa mu komera ly’abaana e Naguru lw’akwenyigira mu bubbi bw’amassimu.
Omulamuzi we ddaala erisooka ku City Hall Beartrice Kainza amusomede omusango gw’obubbi bw’amasimu nagwegaana.
Wabula okwegaana omusango tekirobedde mulamuzi kumusindika mu komera e Naguru okutuusa March 26th .