Bya Ruth Anderah
Omulamuzi we ddala erisooka ku kooti ya Buganda Road Charles Yeteise akiriziganyizza ne bbaluwa evudde ewa Ssabawaabi wa gavumenti Mike Chibita, okusuula emisango egyali gyavunanibwa omulabirizi owenzikriza yaba-Evangelical Orthodox, Bishop Jancito Kubuuka.
Ebaluwa ejjayo omusango eyawandikidwa na 29th November eretedwa omu-police Mark Odongo nagikwanga omulamuzi wa kooti ya Buganda Road, Charles Yeteise.
Omulamuzi agambye nti takyalina nsonga lwaki, ayisa ebibaluwa ebikwata Kibuuka, atenga omuwaabi wa gavumenti omusango takyagulabamu nsa, era ono kati wakulye butaala.
Wabula munamatteeka woludda oluwaabi Jude Mbabali awakanyizza ebbaluwa eno nagamba nti yali yawandikibwa dda nga tenatuka w’amulamuzi.
Kino kyadirira omubaka we Kalungu East mu palamenti, Joseph Ssewungu ne banamateeka abakatolika nga bakulembedwamu Jude Mbabali okutwala Kibuuka mu kooti nga bamuvunaana okuvvola enzikiriza yaabwe.
Bano bagamba nti ono aliko ebigambo byeyayogera ngavoola Ssabasumba we ssaza ekulu erye Kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga, ne ssabasumba wesaza lye Gulu John Baptist Odama nga bamulumiriza okubayit, abayaaye.