Bya Malikh Fahad
Entisa ebuutukidde abatuuze be Lwemiyaga mu district ye Sembabule omupoliice bwavudde mu mbeera n’akuba amasasi mu bantu okukakana ngasse omuyizi n’okulumya taata we.
Omupolice ono abadde agenze kuwerekere ba wanyondo ba kooti ababade bagoba abantu ku ttaka wakati mu kavuyo nabatuuze nakuba amasasi mu banga okukakana, Godfrey Talinyeba nalugulamu obulamu nokulumya kitaawe Bennon Tumuhirw nga bano batuuze be Kasunga.
Omukulu ono Tumuhirwe aludde ngaali munkayane nenyini taka Makumbi Godfrey era nga ensonga zaabwe zibadde mu kooti
Ayogerera police mu kitundu Lameck Kigozi agambye nti mu kaseera kano bayigga omupolice eyakoze ettemu lino.