Bya Magembe Sabiiti
Poliisi e Mubende ekutte abafumbo, Yiga Peter ne mukyala we Babirye Eva abatuuze ku kyalo Kirungi lwakutulugunya mwana wabwe Muwonge Ssepiriano.
Bano babadde omwana bamusiibya ku miggo n’okumwokya amazzi ku lubuto.
Mayor wa Division Kasigazi Beatress ategezeezza nga bwebabakute abafumbo bano oluvanyuma lw’okutemezebwako abatuuze.
Omukwate Yiga Peter mu kwewozaako ategezeezza nti talina busobozi bulabirira mwana wabula nakiteeka ku maama we nti yabaddenga amutulugunya.