Bya Benjamin Jumbe
NRM bagambye nti tebagenda kuterebuka olwa alipoota ezifuluma ezibamalamu amaanyi.
Kino kidiridde alipoota efulumiziddwa aba CCEDU, eraze nti banna-Uganda 85% tebawagira byakujja kkomo ku myaka gyomukulembeze.
Omukwanaganya wa CCEDU, Dr Livingstone Ssewanyana asabye palamenti okuwuliriza okusaba kwabantu mu nsonga zino
wabula bwabadde ayogerako ne Dembe FM oluvanyuma lwalipoota efulumiziddwa nampala wa gavumenti Ruth Nankabirwa ategezeza nti balina omuwendo gwababaka abetagisa abasoba mu 300 okuwagira ennongosererza ezokujja ekkomo ku myaka.