Bya Moses Ndaye,
Minisitule eye byóbulamu esazeewo okugyayo eddagala erigema ekirwadde kya covid-19 mu zi-disitulikiti ezitalikozeseza.
Okusinzira kwakulira ebyobujanjabi mu minisitule eno Henry Mwebesa kino bakikoze okwewala eddagala lino okwononokerayo nga telikozesedwa.
Ono agamba nti balagidde ekitongole kya gavt ekye byeddagala ekya national medical stores okutandika okuligyayo.
Bakulekayo eri abo abanagenda okufuna doozi yabwe eyokubiri.