Bya Ivan Ssenabulya
Ekkanisa ya Uganda yakukuza olunnaku Lwabajulizi nga 3 June, mungeri yanajawulo, ku kiggwa kyabajulizi side yaba-Anglican e Namugongo.
Kino kirangiriddwa, omuwandiisi wolukiiko lwabalabirizi abekkanisa ya Uganda Rev Canon William Ongeng.
Canon Ongeng, agambye nti abantu batono 200 bokka, bebayitiddwa okwetaba mu kusaba kuno okusobola okwetangira ekirwadde kya ssenyiga omukambwe.
Agambye nti bakimanyi bulungi nti egwanga liri mu kaseera kazibu olwomuyaga gwa ssenyiga omukambwe, ogwokubiri ogwalumbye egwanga.
Omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni agambye nti gwebayise ngomugenyi omukulu, Ssabalabirizi we’kanisa ya Uganda Dr Stephen Samuel Kaziimba Mugalu yagenda okubeera omujaguzi omukulu atenga omulabirizi we Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira yajja okukulemberamu okusaba.
Ebikujjuko byomwaka guno bigenda kuvugira ku mubala ‘‘Life in its fullness oba obulamu obujjuvu, ngomubala gwasimbuddwa mu kitabo kya Yokaana J10:10b.’’
Ekkanisa ya Uganda yegatta kubakatuki buli mwaka, okujjukira abajulizi ba Uganda 25 okwali naba-Anglican 13 nabakatuliki 12 abatibbwa ku biragiro bya Ssekabaka Mwanga II.
Ekkanisa ya Uganda etegezezza nti betaaga ensimbi bulindo eziri mu buwumbi okutegeka omukolo guno.