Amawulire

Siriimu ali mu bavubi avuluuja

Ali Mivule

July 16th, 2014

No comments

fishermen new

Alipoota efulumiziddwa eraga nti ku buli bavubi ekkumi b’osanga , bana ku bbo babeera n’obulwadde bwa Mukenenya.

Okunonyereza kuno kukoleddwa ekibiina kya International Organization for Migration, nga kituuse mu disitulikiti mukaaga okuli Apac, Wakiso, Kasese, ne Masaka.

Bangi kyeyolese nti abavubi bano bakimanyi nti siriimu atta kyokka bwebatuuka mu bikolwa ssibwebeyisa

Omu ku banonyereza abakulu Dr. Bernadette Ssebaduka agamba nti ebyobulamu mu bavubi bikyaalina olugendo ekyongedde obulwadde okwegiriisa ng’ekigotta entula

Okunonyereza kuno kulaze nti abavubi abali mu mutwaalo ogumu mu enkumi ssatu beebalina obulwadde

Kati nno ab’ekibiina kino ekikoze okunonyereza balabye biri biti, nebatandika okusomesa abantu bano

Dr. Ssebaduka agamba nti abasinze okutambuza obulwadde bamalaaya era nga bano beetaga kuyamba.