Amawulire
Akulira Uganda management institute avunaaniddwa
Akulira ettendekero lya Uganda Management Institute Deo Lukoji Bbosa aguddwako emisango gy’okufiiriza ettendekero lino obukadde obusoba mu 200 , bweyekobaan nebane okubulankanya ensimbi z’esomero
Getufunye goole nga ono okukwatibwa bweyewadeyo yekka mu mikono gya police
Kigambibwa nti ababiri bano beewa ssente z’okugula emmotoka, ne ssente z’obusiimo obwenjawulo mungeri eye’ekyeyononero.
Wabula omulamuzi wa kkooti ewozesa abakenuzi Sarah Langa ono amukkirizza y’eyimirirwe ku bukadde 2 ezabuliwo ate nga abamweyimiridde 2 batadde omukono ku kakalu ka kkooti ka bukadde 100 ezitalizabuliwo okulaba nga abavunaanwa badda mu kkooti.
Omulamuzi asazeewo ono akomewo mu kooti nga 14th –August-2014.