Amawulire
Abaana bakubiddwa laddu
Abaana 20 bakubiddwa laddu ku ssomero lya Forest high school day and boarding school
Essomero lino Lisangibwa Kalwana e Mubende
Abaana bano laddu okubakuba ebasanze mu kibiina nga basoma
Laddu eno ejjidde mu nkuba eyamaanyi etonnye mu kitundu kino era nga abaana bano baddusiddwa mu ddwaliro lya Kikandwa health center 3 nga bali mu mbeera mbi.
Twogeddkeo n’atwala ebyenjigiriza ku Lukiiko olukulembera disitulikiti ye Mubende Daniel Zziwa kazibwe n’ategeeza nga abaana bano bwebagenda badda engulu olw’abasawo okubawa obujjanjabi ..
Wabula ono agugumbudde abaddukanya amasomero obutafaayo kuteeka buuma bukwata laddu ku masomero wekiviiridde obubenje bw’engeri eno.