Amawulire

Bamukudde kisaganda

Ali Mivule

July 24th, 2014

No comments

many teeth

Abasawo mu ggwanga lya Buyindi baliko omuvubuka w’emyaka 17 gwebakudde amannyo agawerera ddala 232.
Okukola kino abasawo bamaze essaawa musanvu nga balongoosa omuvubuka ono.
Ashik Gavai yatwaliddwa mu ddwaliro ng’oluba lwe lwonna luzimbye nga n’obulumi bw’alimu buzibu era nga kino akibaddeko okumala emyezi 18.
Abasawo bagamba nti kino tekirabikalabika kyokka nga bakitadde ku Muntu okumera amannyo Amangi awalina okumera erinnyo limu