Amawulire
Sembabula awuumye ngabetekegera omutanda
Embutu n’emiriza bibutikidde essasa lya Ssabasajja erye Mawogola wakati mu kwetegekera okukyala kwa Ssabasajja mu ssaza lino.
Ssabasajja yasiima okukuza amatikira ge ag’omulundi ogwa 21 mu ssaza lye Mawogola nga 31 omwezi guno era n’essira litekeddwa ku kutumbula ebyobulamu mu ssaza lino.
Ssabasajja asubirwa okuyingira essaza lye Mawogola olunaku lw’enkya okulambula emirimu egyikolebwa abantu be mu gombolola 5 omuli Ntuusi, Ssembabule, Lwemiyaga wamu nendala.
Abantu basabasajja okuvira mu ssaza lye Busiro mubitundu omuli Kyengera, Nsangi, Mpigi, Kalungi, Bukomansimbi okutukira dala e Ssembabule basimbye ebiyitirirwa okwaniriza Ssabasajja.
Olunaku olwalero olusisira ly’ebyobulamu lutandise kumbuga y’essaza e Ssembalule wamu ne ku gombolola e Ntusi.
Minister wa Buganda Ow’ebyobulamu Dr. Ben Mukwaya agambye nti abantu abasoba mu 500 bebajanjbaiddwa olunaku olwalero.