Amawulire
Ssabasajja kabaka Mutaka e Mawogola
Ssabasajja kabaka mutaka mu ssaza lye erye Mawogola ng’abaayo essaanyu ly’okulaba ku mutanda libula okubatta
Ali wamu ne kamalabyonna Charles Peter Mayiga kko n’abakulu abatali bamu.
Omutanda alambudde ebifo ebitali bimu omubadde ne musajja we Fred Joram Mwebaza ayise mu bulimi n’obulunzi okukulakulana
Eno katikkiro gy’asinzidde okukunga abavubuka okukola ennyo nga balabira ku bakadde b’edda abaali batagaya mirimu
Katikkiro era agambye nti ssabasaja kabaka amutisse obubaka eri bannamawogola okukola ennyo kyokka n’abeebaza n’okwagala Obuganda
Ssabasajja yasiimye olunaku lw’amatikkira g’emyaka 21 agakwatire Mawogola era ng’emikolo emikulu gyakubaawo olunaku lw’enkya