Amawulire

Bannadiini balemedde ku nsonga ku bisiyaga

Ali Mivule

August 2nd, 2014

No comments

Wyn

Bannadiini baweze okwongera okulwanyisa ebisiyaga wadde nga kooti ettaputa ssemateeka yasazeewo nti etteka ery’ebisiyaga lyayisibwa mu bukyaamu.

Abalamuzi 5 nga bakulembeddwa akola nga ssabalamuzi Steven Kavuma, bonna bassiza kimu nti sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga teyalina buyinza kuyisa tteeka kubanga  palamenti teyalina babaka bamala.

Abalamuzi era basazeewo nti ekikolwa kya sipiikakyamenya ssemateeka wamu n’amateeka agafuga palamenti.

Omwogezi w’essaza ekkulu erya Kampala Mgr. Wyrand Katende agambye nti ensalawo ya kooti tegenda kukyusa njigiriza ya ekelezia ku bisiyaga.

Mgr. Katende era agambye nti ebitabo ebitukuvu ebivumirira ebisiyaga tebigenda kukyusibwa wadde etteeka lisaziddwamu.