Amawulire

Laddu ekubye bana- omu afudde

Ali Mivule

August 5th, 2014

No comments

lightening

E sembabule entiisa ebutikidde abatuuze oluvanyuma lwa laddu okukuba omwana n’akalirawo.

Bbo 3 batwaliddwa mu ddwaliro nga bali bubi.

Omugenzi ategerekese nga  Shadrack Ebbo, nga abalumiziddwa kuliko  Joshua Muwanguzi ne Maria Keziyah.

Maama w’omugenzi  Margret Nantongo agamba mutabaniwe yakubiddwa laddu mu nkuba eyabadde efudemba.

Omu ku baddukirize ku kyaalo kino ekya  Kikondeka  Jude Kiganda agamba baawulidde enduulu wabula batuuse kikeerezi okutaasa obulamu bw’omwana ono.