Skip to content Skip to footer

Abalongo bafiiridde mu muliro

muliroAbaana 2 bafiiridde mu muliro ogukutte enyumba mwebabadde amakya galeero wali e Seeta mu Ntinda zone mu disitulikiti ye Mukono.

Okusinziira ku poliisi omuliro guno gutandise ku ssaawa nga 2 ezokumakya nga abazadde babadde bagenze kukola.

 

Amyuka omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Paul Kangave agamba abayidde kuliko omulongo Kato ne mukuluwe Kizza sso nga omulongo omulala Wasswa ali bubi.

 

Emirabo gy’abagenzi gitwaliddwa mu ggwanika e Mulago nga okunonyereza bwekugenda mu maaso.

 

Leave a comment

0.0/5