Abasoma obusawo nga bakolera mu ddwaliro ly’e Mulago bediimye.
Bano nga basoba mu 200 okuli banansi, badokita n’abagaba eddagala bavudde mu mbeera lwa gavumenti kulwawo kubateeka ku nteekateeka y’oguzesebwa emanyiddwa nga internship.
Akulira abasawo abagezesebwa mu ddwaliro lino Doctor Fauzi Kavuma agamba bagenda kwekalakaasa mu mirembe bakumbe okuva ku ddwaliro ekkulu e Mulago okugenda ku palamenti okulaga obutali bumativu.