
E Bugiri abatuuze bavudde mu mbeera nebatta omuserikale wa poliisi lwa kumusanga nemukamusajja.
Omugenzi ategerekese nga Muyima nga abadde akolera ku poliisi ye Muterere mu gombolola ye Muterere.
Muyima ono abatuuze bamugudde nga ali ne mukomukuumi wa kampuni eyobwananyini nga bali mu kweesa mpiki za Mukwano nebamubuuza gyeyamuwasiriza nga amatama ntengo n’ekyaddiride kumukuba okutuusa lwebamusse.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East James Mubi akakasizza ettemu lino nga era omulambo gw’omugenzi gutwaliddwa mu ddwaliro lye Bugiri nga okunonyereza bwekugenda mu maaso.