Olwali
Abbye banka ng’ali Bukunya
Omusajja abbye banka oluvanyuma lw’okweyambulamu engoye zonna akwatiddwa lubona nga azzaako engoye zino mu kabuyonjo eriranyewo.
Ezekial Deanda, 32, atuuse mu banka emu nagyamu engoye olwo nanyagulula banka eno olwo n’amanyuuka awatalai kagoye konna ku mubiri.
Wabula abaserikale ba poliisi bamulinye akagere era bamusanze azzako engoye zino mu kabuyonjo emu nga bwabala ne kavu.
Olukwatiddwa nafujjira abaserikale bano amalusu wabula tekimulobedde kumukwata era atwaliddwa mu kaduukulu avunanibwe.