Amawulire
omusajja eyatta mukyala we akwatiddwa
Omusajja agambibwa okutta mukyala we mu kampala omwaka oguwedde bamukwatidde Kenya
Moses Muhangi yadduka oluvanyuma lw’okutta Josephine Nambogo.
Muhangi omukyala gweyatta ye maama w’abaana be babiri era nga yamulumba mu maka ga bakadde be e Namasuba gyeyali yanobera
Akulira poliisi y’ensi yonna mu Uganda, Assan Kasingye agambye nti omusajja ono bamukomezzaawo ku butaka oluvanyuma lw’okufuna ekiragiro kya kkooti ekibawa ebbeetu okukikola