
Akakiiko k’ebyokulonda kategezezza nga bwekatagenda kukkiriza yesimbyewo yenna ku bwapulezidenti kukuba nkungaana nga ebiseera bya kampeyini ebitongole tebinatuuka.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng Badru Kiggundu ategezezza nga amateeka ga kampeyini bwegali amalambulukufu kale nga abesimbyewo basaanye okugagoberera.
Kino kizze wakayita mbale poliisi kyejje erinye eggere mu lukungaana akwatidde FDC bendera Kiiza Besigye lyewali agenda okukuba mu disitulikiti ye Rukungiri.
Kiggundu agamba kampeyini ziggulawo mu butongole nga 9 November kale nga olunaku luno telunatuuka tewaba agezaako okukuba nkungaana.
Mungeri yeemu akakiiko k’ebyokulonda kasambazze ebigambibwa nti ab’ekibiina kya FDC bebasooka okukwata olunaku lw’okusunsulibwako wabula neluweebwa ekibiina kya NRM.
Kiggundu ategezezza nga bw’atafunanga bbaluwa yonna kuva eri FDC nga pulezidenti Museveni n’eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi bebaakwata olunaku lwa nga 3 November okusunsulibwa.
Bbo ab’ekibiina kya FDC balumiriza akakiiko k’ebyokulonda okuberamu kyekubira.