
Eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi asambazze ebigambibwa nti ekya Prof Gilbert Bukenya okuddayo ewa pulezidenti Museveni kyatutengula bannayuganda obutamwesiga mu kawefube gw’aliko okwesibawo ku bwapulezidenti.
Bukenya y’alangiridde nga bw’agenda okuwagira pulezidenti Museveni n’alumiriza oludda oluvganya gavumenti obutaba nakigendererwa.
Omwogezi w’omukago ogugatta ebibiina ebivuganya gavumenti ogwa The Democratic Alliance Michael Mabikke ategezezza nti Mbabazi okwawukana ku pulezidenti Museveni kyava ku butakkanya ku nfuga y’amateeka sso nga ye Bukenya ebyamugyayo byali byetololera ku nsimbi z’akasiimo n’ebyenfuna ebirala.
Mabikke agamba bakugenda mu maaso n’okukuyega bannayuganda okubawagira okuletawo enkyukakyuka.
Bano era bategezezza nga Mbaabzi bw’agenda okusunsulibwa akakiiko k’ebyokulonda nga 3 November.