Skip to content Skip to footer

Abakyala beediimye- abavuganya bawanda muliro

Akulira oludda oluvuganya mu palamenti Wafula Oguttu alabudde gavumenti ku kusindikiriza ennyo abavuganya.

Oguttu agamba nti banditendewalirwa nebatandika okwerwanako.

Wafula agambye nti keekadde gavumeti erekere awo okukozesa etteeka ku nkungaana okulemesa emirimu gyaabwe

Ono agamba nti ekibiina kya FDC kiriwo mu mateeka era kirina okukola emirimu gyaakyo ng’amateeka bwegalagira

Bino bibadde mu kiwandiiko kye ky’asomye mu palamenti olw’eggulo lwaleero nga yemulugunya ku kwambulwa kw’omukyala wa FDC Fatuma Naigaga.

Bbo ab’ekibiina ky’amawanga amagatte bayingidde mu nsonga z’omukyala ono.

Omubaka w’omukago guno akola ku nsonga z’eddembe ly’obuntu akyaaliddeko omukyala ono ne banne abakedde okukandula ku maloboozi ku ngeri abakyala gyebakwatibwaamu.

Uchenna Emelonye abakyala bamuyitiddemu ku bizibu byebasanga mu Lukiiko olukyagenda mu maaso.

Mu kusooka poliisi ekozesezza kamulali okugugumbulula abakyala bano ababadde bagenda ku palamenti okutusaayo ensonga yaabwe

Abakyala bano ababadde gomesi n’ebyambala by’enono endala kko ne Sharia poliisi tebakkirizza kutuuka wala nebasalako

Poliisi egamba abakyala bano tebagitegezezzako ku kwekalakaasa kwabwe okw’emirembe era nga ne palamenti ebadde teyabaniirizza

Leave a comment

0.0/5