Skip to content Skip to footer

Aba DP mu Buganda ba Mbabazi

Eyali ssentebe wa DP Damiano Lubega akunze bannakibiina kya DP okuwagira Amama Mbabazi ku bukulembeze bw’eggwanga

Mu Lukiiko olutudde ku Sharing Hall e Nsambya, Lubega agambye nti mu byobufuzi temuba mulabe wa lubereera nga mu kadde kano Mbabazi ye mutuufu.

Olukiiko luno lwategekeddwa omubaka Betty Nambooze era nga kisuubirwa nti aba DP mu Buganda mwebasuubira okuyita okulangirira nti bali mabega wa Mbabazi.

Nambooze mu kwogera kwe asabye bannakibiina kya DP okuwagira oyo yekka anakulembeza ensonga za Buganda.

Nambooze agamba nti keekadde abavuganya okwegatta.

Abali mu lukungaana luno kuliko eyali ssentebe w’ekibiina kya DP  Damiano Lubega, ababaka okuli  Joseph Sewungu, Muwanga Kivumbi n’eyali minisita w’abavubuka mu bwakabaka bwa Buganda  Nakiwala Kiyingi.

Wabula ab’ekisinde kya loodimeeya Erias Lukwago bebalamye olukiiko luno nga bano baabadde n’olukiikio olwabwe nga wano Erias Lukwago weyalangiridde nti akomawo ku bwa loodi meeya.

Leave a comment

0.0/5