Skip to content Skip to footer

NRM ekakasizza Kadaga ne Oulanya okuvuganya ku bwa sipiika

 

kadaga
File Photo: Kadaga ngali mubyambalo byobwasipiika

Ab’ekibiina kya NRM bakiriziganyizza ku b’ani bebagenda okusimbawo ku bwa sipiika wa palamenti wamu n’omumyukawe.

 

Bano bakkiririziganyizza mu nsisikano gyebabaddemu olunaku lw’egulo mu maka g’omukulembeze w’eggwanga Entebbe.

 

Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa ssentebe w’ekibiina era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni, akakiiko k’ekibiina akokuntikko kakulangirira byabasazewo nga ababaka b’akabondo k’ekibiina kya NRM katudde nga 5 May 2016 ye wiiki eno.

 

NRM erina abantu babiri abagala ekifo kino okuli sipiika yeneyini Rebecca Kadaga n’omumyukawe Jacob Oulanya.

Palamenti yekkumi yakulonda sipiika waayo nga 19 May 2016.

 

Leave a comment

0.0/5