Skip to content Skip to footer

Ongwen alabiseeko mu kkooti

Ongwen in ICC

Okuwozesa omu ku basajja ba Kony ab’okuntikko Dominic Ongwen kutandise.

Ongwen alabiseeko mu kkooti eno etuula mu kibuga Hague ng’ayambadde essuuti ebaddemu essaati ya blue n’ettaayi.

Ekibuuzo kibaddewo nti Ongwen awozesebwa oba nedda.

Avunaanibwa misango gya kutemula, okuwamba, n’okweyisa mu ngeri etali ya buntu.

Munnamateeka wa Ongwen , Hellen Cissy agambye nti omuntu we bamukwata muto n’abeera mu buwambe kale nga teyafuna mukisa gusoma era buli kyeyakola yakikola lwakuba yali talina kyakukola

Munnamateeka we era agambye nti Ongwen tamanyi Luzungu nga yeetaga omuvvunuzi okutegeera obulungi ebyogerwa

Wakudda mu kkooti nga 24th omwezi gw’omunaana okusomerwa emisango.

Leave a comment

0.0/5