
Ate nga bannamawulire bakuno bakuza olunaku lw’eddembe lyabannamawulire poliisi ebasabye okukozesa obukugu obw’ekitalo nga bakola emirimu gyabwe okwewala okukuubagana ne poliisi.
Kino kiddiridde alipoota ezenjawulo eziraga nga poliisi bweli ku mwanjo mu kutulugunya bannamawulire.
Kati nga ayogerako nebannamaulire olwaleero, ssabapoliisi Gen.Kale Kayihura ategezezza nga bannamawulire abamu bwebalimu kyekubira mu kukola emirimu gyabwe kale nga kizibu okukola emirimu gyabwe mu mazima.