Bya Malik Fahad
Abatuuze be Lwabange mu kalungu district wetwogerera nga bali mu kusatira, nga kino kidiridde embwa enkambwe okulumba ekitundu kino
Ebimu ku byalo ebisinze okukosebwa kuliko Kigaju, ne Bugomola nga bino byona bisangibwa mu gombolola ye Lwabenge.
Tutegeezedwa nti embwa zino zitambulira mu bibinja ,era nga kakano zigenda ziruma buli gwezisanze omuli abatambula ekiro, kko n’abaana abakeera okugenda ku masomero
Yye ssentebe wa district eno Richard Kyabaggu agambye nti okukaaba kwabatuuze bakulabye era bagenda kukola ku nsonga eno.