Bya Shamim Nateebwa.
Ekitongole ekya Muvubuka weyogerera ekya straight talk foundation kitegeezeza nga bwewetagawo amateeka agagenda okukoma ku nkozesa y’omwenge wano mu uganda.
Twogedeko n’akulira straight talk foundation -Suzan Ajok n’agamba nti mu uganda abantu abakozesa omwenge bakola ebitundu nga 71.6% , kyoka nga bano bebaana abali wakati w’emyaka 10-17 okusinziira kukunonyereza okwakolebwa mu mwaka gwa 2014.
Ono mungeri yeemu agamba nti n’abaana bano abali wansi w’emyaka 18 bagwana batandike okusomesebwa kubulabe obuli mukukozesa omwenge , bwekiba Kisoboka abatunda omwenge baalenga kusoba nadaga mundaga Muntu.