
Abawagizi b’ekibiina kya NRM mu disitulikiti ye Sembabule bookezza ofiisi y’ekibiina kya disitulikiti mwebabadde babalira obululu bw’akamyufu k’ekibiina.
Kino kiddiridde okulangirira Fred Kalakule ku buwanguzi olwo abawagizi ba Benon Bulora gwebawangudde nebalumba ofiisi nebazitekera omuliro.
Abawagizi Bulora okuva mu mbeera kyaddiridde aba Fred Kalakule nga era ye ssentebe w’e gomboloa eno okutandika okukyakyankya nga babasomooza nebayiiga nebookya ofiisi nga balumiriza nti bababbye.
Omwogezi wa poliisi mu bukiika kkono bw’eggwanga Noah Sserunjogi akakasizza efujjo lino n’ategeeza nga abakoze efujjo bwebakozesezza akakisa nga abakuumi tebaliiwo.