
Abakyala mu disitulikiti ye Moroto balabuddwa nti bakukwatibwa singa basangibwa nga bambadde enkunamyo wamu n’abo abatambuliza embuto ebweru.
Aduumira poliisi ye Moroto Richard Aruku Maruk y’akoze okulabuloa kuno oluvanyuma lw’ekikwekweto ku bamalaaya mu nkuubo ez’enjawulo gyebatwala bakasitooma baabwe.
Ategezezza nga abakyala abambala mini bwebakema abasajja okubatuusako ogwabuliisa maanyi kale nga kati buli mukyala alina okwambala mu ngeri eweesa ekitiibwa.
Ono era alabudde nga bw’agenda okuggala amaduuka gonna agatunda mini mu kitundu ky’atwala.