
Ekirwadde kya cholera kyakatta abantu 6 mu gombolola ye Kabwooya mu disitulikiti ye Hoima .
Ekirwadde kino kati kisasanidde ne mu gombolola ye Buseruka nga eno 89 bali ku ndiri.
Okusinga Cholera alumbye babeera kumpi n’embalama z’enyanja Albert.
Alondoola eby’obulamu mu disitulikiti eno Fred Kugonza ategezezza nga abasatu bwebabadde ku mwalo gwe Nkondo sso nga abasatu abalala bakumwalo gwe Kaiso.
Kugonza agambye nti bataddewo ebifo by’okujanjabiramu abantu cholera ono ku myalo gyombi okwewala ekirwadde kino okusasaana.