
Omu ku baasingisibwa omusango gw’okubeera omuyeekera wa PRA Capt. Amon Byarugaba kyaddaaki eyimbuddwa.
Byarugaba amazeeyo ekibonerezo ekyamuweebwa eky’emyezi omukaaga oluvanyuma lw’okusingisibwa omusango gw’obutujju n’okwetaba mu kuyekeera gavumenti ya NRM.
Ayimbuddwa okuva mu kkomera lye Kigo okudda ewaka ng’awerekeddwaako munnamateeka we Radislaus Rwakafuuzi.
Byarugaba yali avunaanibwa wamu n’abantu 22 okwaali ne Dr Kiiza Besigye.
Ono bamukwatira mu bibira bye Ituri e Congo aba PRA gyebaali basimbye amakanda.
Kkooti ono yamusalira ekibonerezo kyakusibwa myaka 13 kyokka nga yali amaze ku alimanda emyaka 12 n’ekitundu nga kati abadde ajjuza emyaka 13 gy’amazeeyo olwaleero.