Amawulire

Ababaka balambudde ekibuga- USAFI bakaaba, Eggaali nfu

Ali Mivule

August 19th, 2014

No comments

Abasuubuzi mu katale ka USAFI babigudde buto ku luno nga bagaala palamenti ekkirize beegule nga basasula obuwumbi 35.

Abasuubuzi amaloboozi gaabwe bagayisizzaamu bwebabadde bakyaliddwa ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akakola ku nsonga z’omukulembeze w’eggwanga.

RVR

Nga bakulembeddwaamu ssentebe waabwe Col Fred Mwesigye, ababaka basuubizza okwetegereza ensonga eno nga tebannasalawo kyankomeredde

Abasuubuzi bagamba nti abagaala okukulakulanya akatale bayinza okujja n’obukwakkulizo obubakosa nga y’ensonga lwaki bagaala ekintu bakyekwatiremu

Ababaka bano nno oluvudde ku USAFI beeyongeddeyo ku ggaali y’omukka okwetegereza ng’ebintu bwebinaaba.

Batambulidde mu ggaali okuva e Kampala okutuuka e Namanve.

Bbo abaddukanya eggaali y’omukka aba Rift Valley Railways beewozezzaako ku ky’eggaali okubeera ganyegenya ng’agamba nti byonna byesibye lwa kitendera emingi egiriwo

Akulira kkampuni eno Paul Kabale agambye nti basuubira mu omwezi gwa December wegunaatukira ng’ebintu biri mulaala