Amawulire
Abasabaaza abantu betemyeemu ku keediimo
Abamu ku bagoba b’ebidduka mu kibuga bawakanyizza ekya banaabwe okwekalakaasa ku bbalaza eya wiiki ejja.
Abagoba ba taxi, loole , ne boda boda abeegattira mu kibiina ekya National Union of Drivers, Cyclists and Allied workers abalangirira okwekalakaasa nga bawakanya amateeka amakakali ku bidduka agateekebwawo KCCA.
Wabula abamu ku bagoba ab’ebidduka nga bakulembeddwa mu Aziz Kirya akulira abagoba ba biloole bategezeza nga bbo bwebatagenda kwenyigira mu kwekalakaasa.
Bano bagamba nti bo beteegefu okukolagana ne KCCA okutereza omulimu gw’okutambuza abantu mu kibuga.