Amawulire
abagenda okubala abantu beediimye
Abatendekedwa okubala abantu Mubende town council bavude mumbeera nebekalakaasa nga bawakanya ensimbi entono ezibadde ziragidwa mundagaano ezibaweredwa.
Kino kidiridde bano okubategeeza nga bwebabadde balina okuweebwa emitwalo 20 ng’omusaala kyoka nga zino zakujibwako omusolo, n’okubanga bakuweebwa 3000 zokka buli lunaku nga kwekuli ekyemisana nentambula saako ne airtime ow’okweyambiisa .
Wabula akulira entekateeka yokubala abantu mu disitrict ye Mubende Kakinda Matovu ategezezza nga bwebagenda okutwala ensonga eri ekitongole kyegwanga ekivunanyizibwa ku nteekateeka eno ekya UBOS okulaba obanga bayinza okwongera ku nsimbi zino neziituuka wakiri ku 5000.