Bya Ruth Anderah.
Omulamuzi wa kooti enkulu mu Kampala Margaret Oguli Oumo alagidde sipiika wa parliament Rebecca Kadaga okuliyirira ababaka ba parliament omukaaga ensimbi zonna zebazze bakozesa okugenda mu kooti, kyoka ye nga agaanye okulabikako .
Kinajukirwa nti sipiika sabiiti ewedde aliko ababaka 6 beyagoba mu parliament nga abalanga kusiiwuka mpisa, kyoka bbo nebadukira mu kooti
Kati leero Kadaga ne ssabawolereraza wa, government mpaawo alabiseeko mu kooti newankubadde babade bakimanyi nti omusango gwa leero.
Wabula mukuwulira omusango guno omulamuzi olulabye nga munamateeka wababaka bano atuuse n’alagira banamawulire okwamuka kooti
Oluvanyuma nga ensonga ziwedde munamateeka w’ababaka bano nga ono ye Erias Lukwago ategeezeza banamawulire nti omulamuzi awaliriziddwa okukubira ssabawolerereza wa govt esimu, kyoka ategeezedda nti abadde alina okukola omusango guno mulwadde
Kati kino wano omulamuzi wasinzidde natekwawo olwa nga 3rd January 2018 nga olunaku omusango guno lwegulina okudamu okwulirwa
Ababaka abaagobwa kuliko -Allan Ssewanyana, Ssemujju Nganda, Gerald Karuhanha, Anthny Akol, Jonathan Odur ne Mubarack Munyaggwa nga bano babawumuza okumala entuula musanvu.