Bya Shamim Nateebwa
Edwaliro lye Mulago litubidde nomulambo gwomusajja atanategereke gwebakubye emiggo bwebamuteberezza okubba mbuzi.
Okusiziira ku alipoota eyakoledwa poliisi ye Kawolo ono gyeyagyidwa ngataawa yakubidwa abatuuze be Sagazi-Lugazi oluvannyuma lwokumusanga mu kiro ngasikaasika embuzi 3 wabula bwebabubuzizza gy’azitwala n’abaddamu byebatakirizza kwekumukuba.
Oluvannyuma lw’okumukazaakaza ennyo yabategeezezza nti mutuuze w’e Namataba ng’olumu abeera Namawojjolo kwe kumubuuza ekyamuleese e Lugazi nebamugwako, ekiyiifuyiifu nebamukuba, okumuleka mu kkubiro.
Ono yafiridde mu ddwaliroe Mulago gyeyabadde aleteddwa okujanjabibwa.
Poliisi abadde ekyalemeddwa okutegeera nannyini mbuzi nga kino kyavudde ku bantu abenjawulo abazze nga buli omu agamba nti ssi zize, balina okubuuza obukakafu ku kyalo.