Skip to content Skip to footer

Ssabasumba baakumuzimbira ekijjukizo

Bya Ndhaye Moses

Kkerezia-Katulika mu Uganda bakyagenda mu maaso nokukungubagira, abadde Ssabasumba wessaza ekkulu erye Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga.

Olunnaku lwe ggulo kkerezia yafulumizza alaipoota ekwata ku kufa kwe, nga kyategezeddwa nti yafa oluvanyuma lwomusaayi okutuyira.

Ono baamusanga yafirirdde mu kisenge kye ku lunnaku Lwomukaaga, nga yafirirdde ku myaka 68.

Kati olwaleero wategekeddwawo okusaba okwenjawulo ku butaka e Kyabakadde, mu ssaza lye Lugazi.

Okusaba kuno kugenda kukulemberwamu Christopher Kakooza, omusumba we Lugazi.

Ssabasumba Dr. Cyprian K. Lwanga yazalibwa nga 19 mu January wa 1953 ku kyalo Kyabakadde mu disitulikiti ye Mukono.

Mmisa endala yakubeera ku kiggwa kyabajulizi e Namugongo olunnaku lwenkya okujjukira emirimu amakulu gyakoledde kkerezia ne gwanga awamu.

Mungeri yeemu ab’oluganda lwabadde Ssabasumba, omugenzi Dr. Cyprian Kizito Lwanga bategezezza nti baakukola ku ntekateeka okumuzimbira ekijjukizo.

Okusinziira ku muganda womignezi, nga ye mwogezi wa famile Justine Mayajja, kino baakukikola okumujjukiranga, kubanga abadde muntu mutabaganya era abunyisa engiri eyemirembe.

Mu biralala byamwogeddeko, agambye nti abadde mukozi nnyo akubiriza abantu okuvva mu bwavu.

Kati agambye nti waddenga ngaba famile era bandiyagadde azikibwe okwabwe e Kyabakadde, baakussa ekitiibwa mu ntekateeka ya kkerezia, okumuziika webaziika abasumba.

Dr. Cyprian Kizito Lwanga wakuzikibwa ku lunnaku Olwokuna, okulinaana ku lutikko e Lubaga.

Leave a comment

0.0/5