Skip to content Skip to footer

Cholera alumbye Hoima

choleraEkirwadde kya Cholera kizzemu okubalukawo mu disitulikiti ye Hoima.

Avunanayizibwa ku kulondoola endwadde mu disitulikiti eno  Fred Kugonza agamba kati abantu 100 bebakakwatibwa obulwadde buno nga era bbo bategezezza minisitule y’ebyobulamu ku nsonga eno.

Ab’ebyobuloamu kati babakanye ne kawefube w’okukunga abantu okuzimba zi kabuyonjo wamu n’okuddabiriza ezo eziri mu mbeera embi nga kwotadde n’okusomesa abantu akalungi akali mu kunywa amazzi amafumbe n’okunaaba engalo nga bavudde emanju.

Amagomblola agasinze okukosebwa geego agali kumpi n’enyanja Albert okuli Kabwoya, Buseruka , Kyangwali n’amalala.

Ekirwadde kya Cholera kileetera omuntu okusesema wamu n’ekiddukano.

 

Leave a comment

0.0/5