Obwakabaka bwa Buganda bwanjudde embalirira ya buwuumbi obusoba mu 73, eri olukiiko lwa Buganda olutudde ku Bulange e Mengo.
Bw’abadde ayanja embalirira eno, Omuwanika wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ategezeeza nga Obwakabaka bwe bulina ekirubirirwa eky’okutumbuula embeera y’abantu ba Buganda naddala mu by’obulamu, eby’obulimi-n’0buluuzi saako eby’enjigiriza.
Nsibirwa ategezeeza nti Buganda n’ekigendererwa eky’okutuuka ku ntiko, esaana okunyweeza abantu baayo nga balamu ate nga bakola butaweera.
Ye Katikiro Owek Charles Peter Mayiga awanjagidde obuganda okukolera awamu olwo Buganda enywerere ku ntiko.