Bya Abubaker Kirunda
Omukazi ow’emyaka 37 asangiddwa nga yetugidde mu ffumbiro, naleka abatuuze mu ntiisa.
Bino bibadde ku kyalo Bulondo B, mu gomboloa ye Butagaya e Jinja, ngomugenzi ye Aisha Nabirye.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Kiira Dianah Nandaula agambye nti omugenzi yagambye banne, nti agenze kweyamba mu kiro, wabula kumakya basnze alengejjera mu kiyungu.
Ekyamuviriddeko okwetta tekinaterekeka.