Skip to content Skip to footer

Abaana 3 baafiridde mu muliro

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi e Kabale etandise okunonyereza ku baana 3 abafiridde mu nnyumba bwekutte omuliro.

Linet Nuwahereza owemyaka 8, Bright Kanyesigye owemyaka 6 ne Bridget Nsimire owe 4, nga bonna baana ba Gadi Ayebare omutuuze ku kyalo Nyaruhanga mu gombolola ye Buhara e Kabale.

Kigambibw anti abaana bano bakedde nebagenda ku ssomero, wabula maama waabwe Allen Orikyiriza yageneze okudda okuva okuziika, yasanze bafu.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Kigezi Eli Matte akaksizza, nti okunonyereza kutandise.

Leave a comment

0.0/5