Pulezidenti Museveni kyaddaaki avuddemu omwaasi ku ky’ayita okukozesa obubi emikutu gya yintaneti.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa akawungeezi ka leero, pulezidenti alayidde okufafaagana n’abo abakyatambuza obulimba naddala nga bakozesa omukutu gwa Whatsup.
Ono asonze ku bbaluwa ebadde etambulira ku mukutu gwa Whatsup ng’eraga nti ono aliko ebbaluwa gyeyawandiikira eyali omukulembeze w’eggwanga lya Libya Muammar Gaddaffi mu mwaka 2010 kyokka nga takikolangako.
Mu bbaluwa, pulezidenti era kigambibwa nti yassaamu ebigambo ebirumba abakiga ekintu ky’atakolangako
Pulezidenti agamba nti ebbaluwa eno yabulimba etasaanye kugobererwa era nga poliisi yakuginonyerezaako
